Numbers 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'atuma ababaka ewa kabaka wa Edomu ng'ayima e Kadesi bamugambe nti: “Muganda wo Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Omanyi ebizibu ebyatutuukirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti, “Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w'e Edomu, n'amugamba nti, “Omanyi ennaku zonna ezatuuka ku Isiraeri muganda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ng'ali e Kadesi, n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumutegeeza nti baganda be Abayisirayeli bagamba nti: “Omanyi bulungi ebizibu byonna ebyatutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w’e Edomu, nti Bw'atyo bw'ayogera Isiraeri muganda wo, nti Omanyi ennaku zonna ezaatubaako: