Numbers 20:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bwe twawanjagira Omukama, n'atuwulira, n'atuma malayika eyatuggyayo mu Misiri. Kati tuutuno wano mu kibuga ky'e Kadesi, ekiri ku nkingi z'ensi yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe twakaabirira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika n'atuggya mu Misiri; era, laba, kaakano tuli mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twakaabirira Mukama atuyambe, n'awulira okukaaba kwaffe, n'atuma omubaka n'atuggya e Misiri. Kaakano tuutuno tuli Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe twakaabira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika, n'atuggya mu Misiri: era, laba, tuli mu Kadesi; ekibuga ekiri ku nsalo yo enkomerero: