Numbers 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tukwegayiridde tukkirize tukutulire mu nsi yo. Tetujja kuyita mu nnimiro oba mu mizabbibu, wadde okunywa amazzi mu nzizi zo; tujja kutambula nga tetukyamye ku ddyo oba ku kkono, nga tugoba oluguudo lwa kabaka lwokka, okutuusa lwe tunaakutula ensalo zo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka, lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kulinnyako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu, era tetujja kunywa ku mazzi ag'omu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, awatali kuwunjawunjako ku ddyo oba ku kkono, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ka tuyite, nkwegayiridde, mu nsi yo: tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi: tunaatambuliranga mu luguudo lwa kabaka, tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tuliyita ku nsalo yo.