Numbers 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Nzija kugoberera kkubo ddene lyokka, singa nze n'amagana gange tunaanywa ku mazzi go, ŋŋenda kugasasulira. Nsaba kimu kyokka, nkutulire wano ku bigere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti, “Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti, “Tuliyita mu luguudo mwokka; bwe tunaanywanga ku mazzi go, ffe n'ebisibo byaffe, kale tunagasasuliranga. Nkwegayiridde tukkirize tuyitemu buyisi n'ebigere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, era ffe n'amagana gaffe, buli lwe tunaanywa ku mazzi gammwe, tujja kugasasulira. Tusaba kimu kyokka: mutukkirize tuyitemu buyisi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti Tulirinnyira mu luguudo: bwe tunaanywanga ku mazzi go, nze n'ebisibo byange, kale n'awanga omuwendo gwago: ka mpitemu buyisi n'ebigere.