Numbers 20:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Aroni ajja kufa yeegatte ku bantu be. Tajja kuyingira nsi gye nnaawa Abayisirayeli, kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi g'e Meriba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Alooni ajja kufa agoberere bajjajjaabe. Taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Arooni ajja kufa yeegatte ku bajjajjaabe. Tajja kuyingira mu nsi gye mpa Abayisirayeli, kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag'e Meriba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be: kubanga taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba.