Numbers 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni mwambulemu ebyambalo bye obyambaze Eleyazari mutabani we, kubanga Aroni ajja kufiira eyo yeegatte ku bantu be.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eriyazaali mutabani we. Alooni anaafiira eyo n'agoberera bajjajjaabe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eleyazaari mutabani we. Arooni ajja kufiira eyo, yeegatte ku bajjajjaabe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni omwambuleko ebyambalo bye, obimwambaze Eriyazaali mutabani we: kale Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be, era aaaafiira eyo.