Numbers 20:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ayambulamu Aroni ebyambalo bye, n'abyambaza Eleyazari mutabani we. Aroni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eleyazari ne baserengeta wansi w'olusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayambulamu Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we. Alooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayambulamu Arooni ebyambalo eby'obwakabona, n'abyambaza Eleyazaari mutabani wa Arooni. Arooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Olwo Musa ne Eleyazaari ne baserengeta ne bava ku lusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayambula Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we; Alooni n’afiira eyo ku ntikko y'olusozi: Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bava ku lusozi.