Numbers 20:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna bwe kyamanya nga Aroni afudde, ennyumba yonna eya Yisirayeli n'emukaabira okumala ennaku amakumi asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe kyamanya nga Alooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina ky'Abayisirayeli bwe kyamanya nga Arooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina kyonna bwe baalaba nga Alooni afudde, ne bamala ennaku asatu nga bakaabira Alooni, ennyumba ya Isiraeri yonna.