Numbers 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki watwambusa n'otuggya mu Misiri, n'otuleeta mu kifo kino eky'akabi, mw'otoyinza kusiga, omutadda na mikunyu na mizabbibu, wadde amakomamawanga? Temuli na mazzi ga kunywa!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwatuggira ki mu Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi, ekitaliimu ŋŋaano, omutali ttiini, omutali mizabbibu, so si kya mikomamawanga; wadde amazzi ag'okunywa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era lwaki mwatuggya e Misiri, ne mutuleeta mu kifo kino ekibi, omutali ŋŋaano, omutali mitiini, omutali mizabbibu, omutali makomamawanga, era omutali wadde amazzi ag'okunywa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okutuyingiza mu kifo kino ekibi? si kifo kya nsigo, so si kya ttiini, so si kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga; so tewali mazzi ga kunywa.