Numbers 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni, ne bava awali ekibiina, ne bajja ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe, ekitiibwa ky'Omukama ne kibalabikira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bava mu maaso g'ekibiina, ne bagenda ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, ne bavuunama amaaso gaabwe: ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.