Numbers 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kwata omuggo, ggwe ne Aroni muganda wo mukuŋŋaanye ekibiina; mwogere eri olwazi awo mu maaso gaabwe, lwo lujja kufumbukula amazzi gaalwo. Mujja kuggya amazzi mu lwazi, abantu banywe n'ebisolo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Alooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Bw'otyo bw'on'obaggyira amazzi mu lwazi onywese ekibiina ky'abantu n'ebisibo byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kwata omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Arooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Obaggyire amazzi mu lwazi, bw'otyo onywese ekibiina ky'abantu n'amagana gaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ggwe ne Alooni muganda wo, mugambire olwazi mu maaso gaabwe, luleete amazzi gaalwo; onobaggira amazzi mu lwazi: bw'otyo bw'onoonywesa ekibiina n'ebisibo byabwe.