Numbers 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bava awo ne basiisira emitala wa Arunoni, mu ddungu eryeyongerayo okutuukira ddala mu nsi y'Abaamori; anti Arunoni ye nsalo y'e Mowabu, gwawula Mowabu ku Baamori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala w'omugga Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamoli; kubanga Alunoni ye nsalo wakati wa Mowaabu, n'Abamoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni, oguli mu ddungu erituuka ne mu nsi y'Abaamori. Omugga Arunoni gwe gwawula ensi y'Abamowaabu ku y'Abaamori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala wa Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamooli: kubanga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n'Abamooli.