Numbers 21:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava awo ne bagenda e Beeri. Lwe luzzi Omukama we yagambira Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu, nzija kubawa amazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri; olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti, “Kuŋŋaanya abantu, nange n'abawa amazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baava eyo ne batambula, ne batuuka ku Beeri. Olwo lwe luzzi Mukama lwe yagamba Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu, Ŋŋenda kubawa amazzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri: olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti Kuŋŋaanya abantu, nange nnaabawa amazzi.