Numbers 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli ne yeetema ew'Omukama nti: “Bw'onompa abantu bano mu mikono gyange, ebibuga byabwe nzija kubizikiriza obutalekaamu kantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti, “Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne beeyama obweyamo eri Mukama ne bagamba nti: “Bw'onooweerayo ddala abantu bano mu mikono gyaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.