Numbers 21:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkwegayiridde, nzikiriza nsalire mu nsi yo; tetujja kukyamako mu nnimiro oba mu mizabbibu, wadde okunywa amazzi mu nzizi, wabula tujja kugoba kkubo lya kabaka lyokka, okutuusa lwe tunaakutula ensalo zo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kuwunjawunjako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu. Tetujja na kunywa mazzi ga mu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ka mpite mu nsi yo: tetulikyamira mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu; tetulinywa ku mazzi ga nzizi: tulitambulira mu luguudo lwa kabaka, okutuusa lwe tuliyita mu nsalo yo.