Numbers 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Sikoni n'atakkiriza Yisirayeli kuyita mu nsi ye. Yakunga eggye lye lyonna, n'agenda okulumba Yisirayeli mu ddungu. Bwe yatuuka e Yawazi n'ayambalagana ne Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsi ye; naye n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna n'alumba Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi n'alwana nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sihoni n'atakkiriza Bayisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'agenda e Yahazi mu ddungu, n'alwanyisa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsalo ye naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'atabaala Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi: n'alwana ne Isiraeri.