Numbers 21:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'amusanjaga n'ekitala, ensi ye n'agitwala okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki. Baakoma ku Bammoni, kubanga ensalo zaabwe kwaliko ekigo eky'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'alwana n'amaanyi n'amuwangula n'awamba ensi ye, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku Yabboki, n'okutuusizza ddala ku baana ba Amoni; kubanga ensalo y'Abamoni yali ekuumibwa n'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne battira abantu be mu lutalo, ne beefuga ensi ye, okuva ku Mugga Arunoni okutuuka ku Mugga Yabboki, kwe kugamba okutuuka ku Bammoni, kubanga ensalo y'Abammoni yali ekuumibwa na maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'amukuba n'obwogi bw'ekitala, n'alya ensi ye okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, okutuuka ku baana ba Amotu: kubanga ensalo ey'abaana ba Amoni yali ya maanyi.