Numbers 21:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'atwala ebibuga by'Abaamori byonna, n'abyezza nga mw'otwalidde ne Kesuboni n'ebyalo ebimwetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'atwala ebibuga by'Abamoli byonna, omuli ne Kesuboni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bawamba ebibuga by'Abaamori byonna, omuli ne Hesubooni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'alya ebibuga ebyo byonna: Isiraeri n'atuula mu bibuga byonna eby'Abamoli, mu Kesuboni ne mu bibuga byakyo byonna.