Numbers 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Kesuboni kye kyali ekibuga kya Sikoni kabaka w'Abaamori, eyalwanyisa eyali kabaka w'Abamowabu n'atwala ensi ye yonna gye yali afuga okutuukira ddala ku Arunoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Alunoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hesubooni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sihoni kabaka w'Abaamori, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Arunoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyalwana ne kabaka wa Mowaabu eyasooka, n'aggya mu mukono gwe ensi yonna, okutuuka ku Alunoni.