Numbers 21:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ng'amaze okutuma ab'okuketta Yazeri, Abayisirayeli ne bawamba ebyalo ebyetooloddewo, ne bagobamu Abaamori abaalimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atuma okuketta ekibuga Yazeri, n'obubuga obwali bukyetoolodde ne babiwamba, ne bagobamu Abamoli abaalimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'atuma abantu okuketta Ekibuga Yazeri. Abayisirayeli ne bakiwamba, awamu n'obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamori abaalimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atuma okuketta Yazeri, ne balya ebibuga byayo, ne bagobamu Abamoli abaali eyo.