Numbers 21:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakyuka, ne bambukira mu kkubo ery'e Basani, Ogi kabaka w'e Basani n'avaayo n'eggye lye lyonna, abasisinkane mu lutalo e Edureyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'abalumba n'eggye lye lyonna n'abalwanyisiza e Derei.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakyuka, ne bakwata ekkubo ly'e Basani. Ogi, Kabaka w'e Basani, n'abalumba n'abantu be bonna okubalwanyisiza mu Edereyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani: Ogi kabaka We Basani n'abatabaala, ye n'abantu be bonna okulwanira nabo e Derei.