Numbers 21:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo n'eggye lye lyonna n'ensi ye. Mukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abaamori eyabeeranga mu Kesuboni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Tomutya, kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo, ye n'abantu be bonna, era n'ensi ye. Onoomukolako kye wakola ku Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Tomutya: kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.