Numbers 21:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamukuba ne batta ne batabani be bonna n'eggye lye lyonna, tebaalekawo n'omu yawonawo; ensi ne bagitwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu. Ensi ye ne bagirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watasigalawo n'omu, ne batwala ensi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, obutalekaawo n'omu, ne beefunira ensi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamutta ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watamusigalirawo n'omu: ne balya ensi ye.