Numbers 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava ku lusozi Ori, ne bakwata ekkubo eridda ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Mu kkubo nga bakooye okugumiikiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basitula okuva ku lusozi Kooli ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa nnyo olw'olugendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bava ku Lusozi Hoori, ne batambula, nga bakutte ekkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu, basobole okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa olw'olugendo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basitula okuva ku lusozi Koola ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu: obulamu bw'abantu ne bukeŋŋentererwa nnyo olw'olugendo.