Numbers 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne beemulugunyiza Katonda ne Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri tufiire mu ddungu? Tewali mugaati, temuli mazzi; n'akamere kano omutali kantu katutamye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne beemulugunyiza Katonda ne Musa nga bagamba nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu? Temuli mmere, so temuli mazzi; n'okwetamwa twetamiddwa eky'okulya kino ekyangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri? Mwatuleeta tufiire mu ddungu? Tewali mmere, tewali mazzi. N'okwetamwa twetamiddwa ekyokulya kino ekitalina bwe kiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa, nti Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? kubanga tewali kyakulya, so tewali mazzi; n'obulamu bwaffe butamiddwa ekyokulya kino ekyangu.