Numbers 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kwe kusindika mu bantu emisota egy'obusagwa, ne gibojja abantu, bangi mu Yisirayeli ne bafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'asindikira abantu emisota egy'obusagwa, ne gibabojja; Abantu bangi ku Baisiraeri ne bafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'asindika emisota egy'obusagwa, era bangi ku Bayisirayeli ne bafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'asindikira abantu emisota egy'omuliro, ne giruma abantu; abantu bangi ne bafa ku Isiraeri.