Numbers 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja eri Musa ne bagamba nti: “Twakoze ekibi, bwe twemulugunyirizza Omukama naawe; saba ew'Omukama, Omukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti, “Twonoonye kubanga twemulugunyiza Mukama naawe; saba Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n'asabira abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bajja eri Musa, ne bagamba nti: “Twakola kibi bwe twayogera obubi ku Katonda ne ku ggwe. Weegayirire Mukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti Twonoonye kubanga twayogera obubi ku Mukama ne ku ggwe; saba Mukama atuggyeko emisota. Musa n'asabira abantu.