Numbers 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogw'omuliro oguwanike ku mpagi, buli abojjeddwa bw'anaagutunulako ng'awona.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Weekolere omusota ogw'ekikomo, oguteeke ku mulongooti; awo olunaatuuka, buli abojjeddwa bw'anagutunulako, anaawona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana egyo egy'obusagwa, oguwanike ku mulongooti. Buli anaaba alumiddwa omusota, bw'anaatunula ku ogwo, anaawona.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Weekolere omusota ogw'omuliro, oguteeke ku mulongooti: awo olunaatuuka, buli alumiddwa bw'anaagulaba, anaaba mulamu.