Numbers 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'agamba nti: ‘Abantu baabano abaava mu Misiri, babisse ku nsi wonna. Jjangu obanvumiririre, mpozzi lwe nnaasobola okubalwanyisa ne mbagoba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Laba, abantu abaava mu Misiri babuutikidde ensi. Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Waliwo abantu abavudde e Misiri, ababuutikidde ensi. Nkwegayiridde, jjangu obankolimirire, mpozzi nnaasobola okubalwanyisa, ne mbagoba mu nsi eno.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abantu abaava mu Misiri basaanikidde ku maaso g'ensi: Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba.