Numbers 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu bwe yazuukuka enkya, n'agamba abakungu ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Omukama aŋŋaanyi okugenda nammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti, “Muddeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama agaanyi okunzikiriza okugenda nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera, Balamu n'agamba ababaka ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe. Mukama agaanye okunzikiriza okugenda nammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti Mwegendere mu nsi yammwe: kubanga Mukama agaanyi okundagira okugenda nammwe.