Numbers 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitiibwa nzija kukuwa bingi, na buli kyonna ky'onooba oŋŋambye, nzija kukikola. Jjangu onvumirire abantu bano.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola. Kale, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nja kukukuza obeere waakitiibwa nnyo, era buli ky'onoŋŋamba, nja kukikola. Kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola: kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano.