Numbers 22:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Balaamu n'ayanukula ababaka ba Balaki nti: “Balaki ne bw'aba wa kumpa lubiri lwe lwonna olujjudde ffeeza ne zaabu, siyinza kusukka ku kigambo kya Mukama Katonda wange, kibeere kinene oba kitono kitya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'addamu n'agamba abaddu ba Balaki nti, “Balaki ne bweyalimpadde ennyumba ye ng'ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukikendeezaako oba okukyongerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'addamu abaweereza ba Balaki nti: “Balaki ne bwe yandimpadde olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku ekyo Mukama Katonda wange ky'alagidde. Siyinza kukikendeezaako wadde okukyongerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n’addamu n’agamba abaddu ba Balaki nti Balaki bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukendeezaako oba okusukkiriza.