Numbers 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'ajja ekiro eri Balaamu, n'amugamba nti: “Oba abantu abo bazze kukuyita, situka ogende nabo, kyokka okola ekyo kyokka kye nnaaba nkugambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ajja eri Balamu ekiro ekyo, n'amugamba nti, “Abantu abo nga bwe bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nnaakugamba ky'ojja okukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro ekyo Katonda n'ajja eri Balamu, n'amugamba nti: “Abantu abo oba nga bazze kukuyita, situka ogende nabo. Wabula ojja kukola ekyo kyokka kye nkulagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n’ajja eri Balamu ekiro, n'amugamba nti Abantu abo oba nga bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nkubuulira ky'oba okola.