Numbers 22:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi bwe yalaba malayika w'Omukama ng'ayimiridde mu kkubo, ng'alina n'ekitala ekisowole mu mukono gwe, n'eva mu kkubo n'egenda mu nnimiro. Balaamu n'agikuba ekomewo mu kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endogoyi, bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'akutte ekitala ekisowoddwa n'eva mu kkubo n'edda ku nsiko. Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo eriyita mu kiwonvu, we lifundira, eriyita wakati mu nsuku z'emizabbibu nga ebbali n'ebbali eriyo ekisenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ng'akutte ekitala ekisowoddwa, n'eva mu kkubo, n'edda mu ttale. Balamu n'agikuba okugizza mu kkubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: endogoyi n'ekyama okuva mu kkubo, n'egenda ku nsiko: Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo.