Numbers 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'ayimirira mu muwaatwa ogwali wakati w'ebisenge by'ennimiro z'emizabbibu, erudda n'erudda nga kisenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo we lifundira, eriyita mu kiwonvu, wakati mu nsuku ez'emizabbibu, eziriko enkomera ez'ebisenge eruuyi n'eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira ekkubo we lifundira, nga liyita wakati w'ennimiro z'emizabbibu, ng'ebbali n'ebbali eriyo ekisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira mu kkubo ery'omu kiwonvu eriri wakati w'ensuku z'emizabbibu olukomera nga luli ku luuyi, n'olukomera ku luuyi.