Numbers 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi bwe yalaba malayika ne yeekukuutiriza ku kisenge, n'enyigiriza ekigere kya Balaamu ku kisenge; Balaamu n'addamu okugikuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge ky'olukomera, n'ebetentera ekigere kya Balamu ku kisenge; n'agikuba nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge, n'enyigirizaako ekigere kya Balamu. Balamu n'addamu okugikuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku lukomera, n'ebetenta ekigere kya Balamu ku lukomera: n'agikuba nate.