Numbers 22:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama ne yeeyongerayo mu maaso, n'ayimirira awafunda awatayinza kukyukirwa ku kkono oba ku ddyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo ennyo, awatali bwe kyusizo ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama ne yeeyongerayo mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo, awatali bwekyusizo ku ddyo wadde ku kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera eyo, n'ayimirira mu kkubo ery'akanyigo, awataali bbanga lya kukyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.