Numbers 22:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi bwe yalaba malayika w'Omukama, n'egalamira awo wansi wa Balaamu. Obusungu bwa Balaamu ne bwesera, n'agikuba omuggo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi nga Balamu agituddeko. Obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba nnyo endogoyi n'omuggo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, n'ebwama ku ttaka, nga Balamu agiri ku mugongo. Balamu n'asunguwala nnyo, n'agikuba n'omuggo gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi wa Balamu: obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba endogoyi n'omuggo gwe.