Numbers 22:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi n'egamba nti: “Siri nsolo yo, gy'ozze weebagala bulijjo n'okutuusa ku lunaku lwa leero? Mmanyidde okukukola ekifaanana kiti?” Ye n'agamba nti: “Nedda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endogoyi n'egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? Nali nkuyisizzaako bwe nti?” Balamu n'addamu nti, “Nedda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endogoyi n'egamba Balamu nti: “Si nze ndogoyi yo gye weebagalako okuva ddi na ddi n'okutuusa kati? Nali nkuyisizzaako bwe ntyo?” Balamu n'addamu nti: “Nedda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endogoyi n'egamba Balamu nti Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? nali mpisizza okukukola bwe ntyo? N'agamba nti Nedda.