Numbers 22:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago Omukama n'azibula amaaso ga Balaamu, n'alaba malayika w'Omukama ng'ayimiridde mu kkubo, n'ekitala ekisowole mu mukono gwe; n'avunnama n'asinza nga yeevuunise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'azibula amaaso ga Balamu, Balamu n'alaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'agaludde ekitala ekisowoddwa. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: n'akutama omutwe gwe, n'avuunama amaaso ge.