Numbers 22:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'amubuuza nti: “Lwaki endogoyi yo ogikubye, guno gwa kusatu? Nze nzize nkuziyize, kubanga olugendo luno terunsanyusizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza, kubanga sikukkirizza kutambula lugendo luno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Okubidde ki endogoyi yo emirundi egyo gyonsatule? Nzuuno nzize okukuziyiza, kubanga olugendo lwo sirusemba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'amugamba nti Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? laba, nfulumye okukuziyiza, kubanga okutambula kwo kukakanyavu mu maaso gange.