Numbers 22:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi bw'endabye, kwe kunviira emirundi egyo esatu; teba kunviira, ggwe nandikusse, naye yo nandigirese.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endogoyi yo bw'endabye ne n'ebalama emirundi gino gyonsatule; singa tenneebalamye, nnandibadde nkusse ggwe, yo ne ngiwonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endogoyi yo bw'endabye, n'ekyuka okunneewala emirundi egyo gyonsatule. Singa tekyuse kunneewala, nandibadde nkusse ggwe, yo ne ngireka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endogoyi n'endaba n'ekyuka mu maaso gange emirundi gino gyonsatule: singa tekyuse mu maaso gange, kaakano sandiremye kukutta ggwe, nayo ne ngiwonya okufa.