Numbers 22:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu n'agamba malayika w'Omukama nti: “Nnyonoonye; saategedde nti ggwe onneesimbye mu maaso mu kkubo okunziyiza; kale oba tokisiimye, ka nzireyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nnyonoonye; kubanga saategedde ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Nga bwe kikunyiizizza ka nkyuke nzireyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'agamba Malayika wa Mukama nti: “Nnyonoonye. Mbadde simanyi ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale, kaakano, oba nga olugendo lwange terukusanyusa, ka nzireyo eka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti Nnyonoonye; kubanga saamanye ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza: kale kaakano, oba nga kikunyiiza, naddayo nate.