Numbers 22:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'agamba Balaamu nti: “Kale genda na bano, kyokka oyogera ebyo byokka bye nnaakugamba.” Balaamu n'agenda n'abakungu ba Balaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Genda n'abantu abo; naye ekigambo kye nnaakugamba kyokka ky'onooyogera.” Awo Balamu n'agenda n'abakulembeze ba Balaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Genda n'abantu abo, naye ekyo kyokka kye nnaakutegeeza, ky'onookola.” Awo Balamu n'agenda n'abakungu ba Balaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti Genda n'abantu abo: naye ekigambo kyokka kye nnaakubuulira ky'oba oyogera. Awo Balamu n'agenda n'abakulu ba Balaki.