Numbers 22:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki bwe yawulira nti Balaamu azze, n'agenda okumusisinkana e Ari mu Mowabu, ku nsalo ku mugga Arunoni, ensi ye w'ekoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'omugga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'Omugga Arunoni, awasemberayo ddala ku nsalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'afuluma okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku nsalo ya Alunoni, oguli ku nkomerero y'ensalo.