Numbers 22:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Saakutumidde ababaka okukuyita? Lwaki tewazze gye ndi? Olowooza sisobola kukuwa bitiibwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki n'agamba Balamu nti, “Lwaki tewajja bwe nnakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinziza ddala kukukuza n'oba waakitiibwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balaki n'agamba Balamu nti: “Lwaki tewajja bwe nakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinza kukukuza n'oba waakitiibwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balaki n'agamba Balamu nti Saakutumira okukuyita ne nkutayirira? ekyakulobera okujja gye ndi ki? siyinza ddala kukukuza n'obeera n'ekitiibwa?