Numbers 22:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Kati nzuuno nzize. Olowooza nsobola okwogera buli kye njagadde? Njogera ekyo kyokka Omukama ky'atadde mu kamwa kange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agamba Balaki nti, “Kaakati nzize gy'oli; naye sirina buyinza kwogera kigambo kyonna, wabula ekigambo Katonda ky'anateeka mu kamwa kange, ekyo kye naayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzuuno kaakano nzize gy'oli. Naye olowooza nnina obuyinza okubaako kye njogera ekyange ku bwange? Ekyo kyokka Katonda ky'anandagira okwogera, kye nja okwogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'agamba Balaki nti Laba, nzize gy'oli: kaakano nnina obuyinza bwonna okwogera ekigambo kyonna? ekigambo Katonda ky'anaateeka mu kamwa kange, ekyo kye nnaayogera.