Numbers 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki n'agamba abakadde mu Midiyaani nti: “Ebbiina lino lijja kusenkenya byonna ebitwetoolodde wano, ng'ente bw'esenkenya omuddo gw'ettale.” Awo Balaki mutabani wa Zippori, ye yali kabaka wa Mowabu mu budde obwo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti, “Kaakano ogubinja guno gujja kusaanyaawo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyawo omuddo ogw'oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamowaabu ne bagamba abakulembeze ba Midiyaani nti: “Kaakano ogubinja guno gujja kulya gusaanyeewo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyaawo omuddo ogw'omu ttale.” Awo Balaki mutabani wa Zippori, era eyali kabaka wa Mowaabu mu kiseera ekyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti Kaakano ekibiina kino kigenda kukombera ddala byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'ekomba omuddo ogw'oku ttale. Era Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo.