Numbers 22:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki n'atta ente n'endiga, n'aweerezaako Balaamu n'abakungu abaali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki n'asaddaaka ente n'endiga, n'atumira Balamu n'abakulembeze abaali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balaki n'atambira ente n'endiga, n'aweerezaako Balamu n'abakungu abaali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balaki n'awaayo ente n'endiga, n'atumiza Balamu n'abakulu abaali naye.