Numbers 22:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya, Balaki n'atwala Balaamu e Bamoti-Baali, ng'asinziira awo abantu n'abalengerako ekitundu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali, n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera ekibiina ekinene eky'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'ayambuka naye ku bifo ebigulumivu ebya Baali. Balamu n'asinziira eyo, okulengera ekitundu ku kibinja ky'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya, Balaki n’atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera enkomerero y'abantu.